Isaiah 52:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zuukuka, zuukuka, ggwe Siyoni, yambala amaanyi go, yambala ebyambalo by'ekitiibwa kyo. Ayi Yeruzaalemu, ekibuga ekitukuvu, kubanga abatali batayirire n'ababi tebakyaddayo kukuyingiramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu; kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Situka ggwe Siyooni, situka oddemu okuba ow'amaanyi. Ggwe Yerusaalemu Ekibuga Ekitukuvu, yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, kubanga tokyaddamu kuyingirwamu batalina ddiini, n'abatali balongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu.