Isaiah 52:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama afungizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkingi zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, bagulabe. Enkomerero z’ensi zonna ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama afungizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda waffe alikozesa obuyinza bwe obutuukiridde n'alokola abantu be, ng'ensi yonna yeerolera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.