Isaiah 52:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye temulivaayo kalaako, temuligenda ng'abadduka, wabula Omukama y'alibakulemberamu, Katonda wa Yisirayeli y'aliba eggye lyammwe eriva ennyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo; Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri y'alibakuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temulivaayo nga mubuguutana wadde okugenda nga mugwirana; kubanga Mukama alibakulemberamu era ye omu Katonda wa Yisirayeli alibavaako emabega okubakuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba.