Isaiah 52:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, omuweereza wange agenda kubeera wa mukisa, ajja kugulumizibwa, atenderezebwe, asukkulumizibwe nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mulabe, Omuweereza wange, byonna by'akola alibikozesa magezi. Alituusibwa ku bukulu n'ekitiibwa, aligulumizibwa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo,