Isaiah 52:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe yawuniikiriza abangi__ anti entunula ye yabijja n'eva ku y'obuntu, n'enfaanana ye n'eva ku y'abantu__
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga abangi bwe baakwewuunya, endabika ye ng'eyonoonese nnyo, nga tafaananika, era ng'eyonoonese evudde ku y'abantu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'abangi bwe baamwewuunya ng'amaaso ge goonooneddwa okusinga ag'omulala yenna bwe gaali goonooneddwa, ng'afuuse muntu atakyafaananika,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n'embala ye okusinga abaana b'abantu,)