Isaiah 52:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga kino Omukama Katonda ky'agamba: “Mu kusooka abantu bange baaserengeta mu Misiri okubeera eyo; gye buvuddeko Abassuri baabanyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo; Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda era agamba nti: “Mu kusooka, abantu bange baagenda okubeerako e Misiri, Abassiriya ne babajoonyesa awatali nsonga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere.