Isaiah 52:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati wano nninawo ki?” Omukama bw'agamba, “kubanga abantu bange batwaliddwa awatali kusasula kantu, ababafuga babavuma,” Omukama y'ayogera, “n'erinnya lyange teritadde kuvumibwa olunaku lwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bw’ayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? Abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama kyenva ŋŋamba nti: ‘Kale wano kiki kye nnaakola kaakano, nga ndaba abantu bange batwalirwa obwereere? Abo ababafuga beewaana, era olunaku lwonna tebalekaayo kunnyooma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma.