Isaiah 52:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo nno abantu bange bajja kutegeera erinnya lyange; ku olwo balimanya nti nze nakiranga. Nze nzuuyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. Weewaawo, Nze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange; kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale abantu bange, balimmanya. Olwo balimanya nga Nze, ddala Nze Nzennyini, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.