Isaiah 52:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wulira abakuumi bo bayoogaana; bonna bayimbira wamu olw'essanyu; anti Omukama bamulabirako ddala n'amaaso ng'akomawo mu Siyoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wuliriza! Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olw’essanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba n'amaaso gaabwe, okudda kwa Mukama mu Sayuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakuumi b'ekibuga kyammwe baleekaana, bayimusa amaloboozi nga bayimbira wamu; kubanga balabira ddala n'amaaso gaabwe Mukama bw'akomawo e Siyooni
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n'eriiso, Mukama bw'alikomawo e Sayuuni.