Isaiah 52:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musaakaanyize wamu ennyimba, mmwe ebifo ebya Yeruzaalemu amatongo, kubanga Omukama akubagizza abantu be, anunudde Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika; kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe ebifo bya Yerusaalemu ebibadde bifuuse amatongo, nammwe mubaguke muyimbe, kubanga Mukama akubagizza abantu be, anunudde Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.