Isaiah 53:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama ye yayagala amubetente amulumye; naye newandibadde nga yamufuula ekitambiro olw'omusango, aliraba ku baana be n'amuwangaaza, n'Omukama ky'ayagala kiriraka mu mukono gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era n’okumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, n’ebyo Mukama by’asiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama yasiima okumubetenta; nnamunakuwaza: bwalifuula obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nasiima okumubonyaabonya n'okumulumya. Nga bw'awaayo obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ebibi, aliraba ku bamusibukamu, n'ayongera ebbanga ly'aliwangaala, era ebyo bye nayagala, birituukiririzibwa mu ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.