Isaiah 53:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'okutegana kwe, aliraba ekitangaala n'amatira; n'olw'okumanya kwe omuweereza wange omutuukirivu alituusa bangi ku kubalirwa mu batuufu, era ebibi byabwe alibyetikka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’okubonaabona kw’obulamu bwe, bw’aliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olw’ebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala; olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliraba ku ebyo ebiriva mu kubonaabona kwe, era birimusanyusa, n'amanya nga teyabonaabonera bwereere. Omuweereza wange oyo, atuukiriza byonna bye ndagira, alyetikka ekibonerezo ky'ebibi by'abangi, ne mbasonyiwa olw'okubeera ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.