Isaiah 53:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyendiva mmwawulizaako ekitundu n'abazira, omunyago aligugabana wamu n'ab'amaanyi, kubanga yawaayo obulamu bwe okutuusa okufa, n'abalirwa mu bajeemu; sso ate ye yeetikka ebibi by'abangi, n'asabira abajeemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi. Era yeetikka ebibi by’abangi era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'ab'ekitiibwa, era aligabana omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya; naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyendiva mmuwa omugabo awamu n'abeekitiibwa, n'agabana omunyago awamu n'ab'amaanyi; kubanga yawaayo obulamu bwe n'abalirwa wamu n'aboonoonyi. Yetikka ekibi ky'abangi, n'abasabira ekisonyiwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'abakulu, era aligerekera omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya: naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya.