Isaiah 53:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakulira mu maaso ge ng'akalokolerwa, era ng'omulandira ogututunuka mu ttaka ekkalu; teyaliiko ntunula, yadde endabika ebitusikiriza okumutunulako, teyalina kalungi katumwegombesa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ng’ekisimbe ekigonvu era ng’omulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gy’ali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ono yakulira mu maaso ga Mukama, ng'ekisimbe ekigonvu mu ttaka ekkalu. Yali taliiko bw'afaanana: nga si kunyirira, nti tumutunuleko; nga si bulungi bwa ndabika, nti bumwegombesa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.