Isaiah 53:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yagayibwa, n'asambajjibwa abantu; ye muntu ow'okunyolwa, amanyidde okubonaabona; omuntu abantu gwe bakyusiza eri amaaso gaabwe; yagayibwa, tetwamulabamu ka buntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike; era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yanyoomebwa, n'agaanibwa abantu. Yajjula ennaku n'obuyinike, nga tewali ayagala kumutunulako. Bw'atyo bwe yanyoomebwa, ne tutamulabamu ka buntu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.