Isaiah 53:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga Sso ate, ye yeetikka ennaku zaffe, yeebinika okunyolwa kwaffe; ffe twamulowoozaako ng'abonerezeddwa, ng'akubiddwa Katonda, alabisiddwa ennaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku yaffe; naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mazima yeetikka buyinike bwaffe era yasitula nnaku yaffe. Naye ffe twalowooza nti okubonaabona kwe, kyali kibonerezo Katonda ky'amuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa.