Isaiah 53:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso yafumitibwa lwa bibi byaffe, yabetentebwa lwa misango gyaffe; ekibonerezo ekyatuleetera emirembe kyagwa ku ye, twawonyezebwa lwa biwundu bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe. Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe; okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka yateekebwako ebiwundu lwa kusobya kwaffe, yabonyaabonyezebwa lwa bibi byaffe. Yabonerezebwa, ffe tufune emirembe. Emiggo gye yakubibwa, gye gituwa obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.