Isaiah 53:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe ffenna twali tuwabye ng'endiga, buli omu ng'akutte lirye; Omukama n'amutikka ebibi byaffe ffenna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffenna twawaba ng’endiga; buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye; Mukama n’amuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe ffenna twawaba ng'endiga, buli omu n'akwata lirye, ekibonerezo ekisaanidde ebibi byaffe, Mukama n'akiteeka ku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.