Isaiah 53:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabonyaabonyezebwa ne bamulabya ennaku naye teyayasamya kamwa ke; yali ng'akaliga akatwalibwa mu bbaagiro; era ng'endiga etenyega mu maaso g'abagisalako ebyoya, naye teyayasamya kamwa ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika, bw’atyo bwe yasirika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasamya kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasamya kamwa ke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yajoogebwa, kyokka n'akigumira mu bwetoowaze, n'atabaako ky'anyega. Yasirika ng'endiga etwalibwa okuttibwa. Era ng'endiga bw'esirika nga bagisalako ebyoya, naye bw'atyo, teyabaako ky'ayogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasama kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke.