Isaiah 53:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaggyibwawo ng'abonyaabonyezebwa n'okusalirwa omusango; naye ani yalowooza ku zzadde lye, nti yakutulibwa ku nsi y'abalamu, n'akubwa olw'omusango gw'abantu bange?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kunyigirizibwa n’okusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi y’abalamu, ng’akubiddwa olw’okusobya kw’abantu, bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'ab'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? Yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yaggyibwawo n'atwalibwa n'asalirwa ogw'okufa, ne watabaawo afaayo kusala musango gwe mu bwenkanya. Yattibwa lwa bibi bya bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'eby'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.