Isaiah 53:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Entaana ye baagiteeka n'ababi, ate mu kufa n'aba na mugagga, newandibadde nga teyakola bukambwe, nga ne mu kamwa ke temwali bukuusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamussa mu ntaana n’abakozi b’ebibi, n’aziikibwa n’abagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera eby’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga teyazza musango, wadde akamwa ke okwogera eby'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baamuziika wamu n'ababi, newaakubadde yali tazzanga musango, wadde okwogera eky'obukuusa. Kyokka yabalirwa wamu n'abagagga mu kufa kwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke.