Isaiah 54:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Sanyuka, ggwe omugumba, atazaalangako; yamira, leekaana, ggwe atalumwanga, kubanga abaana b'oyo eyayabulirwa bangi okusinga ab'oyo aliko bba,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala! kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe Yerusaalemu, obadde ng'omukazi atazaalanga ku mwana, naye kaakano yimba olw'essanyu, kubanga ojja kuzaala abaana bangi okusinga omukazi atalekebwangawo bba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yimba, ggwe omugumba, atazaalanga; baguka okuyimba oyogerere waggulu, atalumwanga kuzaala: kubanga abaana b'oyo atalina bba bangi okusinga abaana b'omukazi eyafumbirwa, bw'ayogera Mukama.