Isaiah 54:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensozi ne bwe zirinyeenyezebwa n'obusozi ne buggyibwayo, ekisa kyange tekirinyeenyezebwa, n'endagaano yange ey'eddembe teriggyibwawo,” Omukama, oyo akukwatirwa ekisa, bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so n’endagaano yange ey’emirembe teriggyibwawo,” bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ensozi zirivaawo n'obusozi buliggibwawo; naye ekisa kyange tekirikuvaako so n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensozi ziyinza okuvaawo, n'obusozi buyinza okuggwaawo; naye okwagala kwe nkwagalamu, tekulikuvaako; n'emirembe gye nakulagaanya tegiriggyibwawo.” Mukama akukwatirwa ekisa, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ensozi zirivaawo n'obusozi buliggibwawo; naye ekisa kyange tekirikuvaako so n'endagaano yange ey'emirembe teriggibwawo, bw'ayogera Mukama akusaasira.