Isaiah 54:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baabuwe omunaku, kibuyaga gw'ayuuya, atakubagiziddwa! Laba, nzija kukwaliira n'amayinja go amagumu, nkubangewo n'amayinja ga saffiro,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama agamba nti, “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe; laba ndikuzimba buto n’amayinja ag’amabala amalungi, emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe abonyaabonyezebwa, asuukundibwa n'omuyaga so tosanyusibwa, laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi, ne nsimba emisingi gyo ne safiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ggwe ekibuga ekibonaabona, ekisuukundibwa omuyaga, n'otobaako akubudaabuda, ndikuzimbisa amayinja amalungi, emisingi gyo ngizimbise amayinja ag'omuwendo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe abonyaabonyezebwa asuukundibwa n'omuyaga so tosanyusibwa, laba, nditeeka amayinja go mu mabala amalungi, ne nsimba emisingi gyo ne safiro.