Isaiah 54:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebigo byo mbizimbise n'amayinja g'akyate, emiryango gyo, n'amayinja agatemagana, n'ebisenge byo, n'amayinja ag'omuwendo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebitikkiro byo ndibikola n’amayinja amatwakaavu, n’emiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo, ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja ag’omuwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebitikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne kabunkulo, n'ensalo yo yonna n'amayinja agasanyusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eminaala gyo ndigizimbisa amayinja amatwakaavu, emiryango gyo ngizimbise amayinja agayitibwa kabunkulo; n'ebisenge ebikwetoolodde, ndibikola mu mayinja agasanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebitikkiro byo ndibikola n'amayinja amatwakaavu, n'enzigi zo ne kabunkulo, n'ensalo yo yonna n'amayinja agasanyusa.