Isaiah 54:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olitebenkera mu butuukirivu, toliba na kuyigganyizibwa, toliba na ky'otya; entiisa erikuba wala, terikusemberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala n’entiisa kubanga terikusemberera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa; onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwenkanya bulikufuula wa maanyi. Oliwona okunyigirizibwa, era entiisa terisembera w'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu butuukirivu mw'oliyima okunywezebwa: onoobanga wala n'okujoogebwa, kubanga tolitya; onoobanga wala n'entiisa, kubanga terikusemberera.