Isaiah 54:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno, ntonze omuweesi, awujja omuliro gw'amanda n'akolamu ekyokukozesa okulabira ku mulimu gwakyo; era nze ntonze n'oyo azikiriza asaanyeewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba nze natonda omuweesi, awujja amanda agaliko omuliro n’aweesa ekyokulwanyisa olw’omugaso gwakyo. Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nnatonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era nnatonda n'omuzikiriza okufaafaaganya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nzuuno eyatonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aweesa ebyokulwanyisa; era Nze natonda omuserikale abikozesa okutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, natonda omuweesi afukuta omuliro gw'amanda, n'aggyamu ekintu ekikola omulimu gwe; era natonda n'omuzikiriza okufaafaaganya.