Isaiah 54:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali kyakulwanyisa ekikuweesereddwa kiriwangula; buli lulimi olukuwawaabira olirusinga. Buno bwe busika bw'abaweereza ba Katonda, bwe buwanguzi bwabwe obuva gye ndi,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw'abaddu ba Mukama, n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tewaliba byakulwanyisa bye baliweesa okukulwanyisa ebiriba n'omukisa, era buli aliwoza naawe, olimusinga. Nnaataasanga abaweereza bange, era nnaabawanga obuwanguzi.” Mukama, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw'abaddu ba Mukama n'obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi, bw'ayogera Mukama.