Isaiah 54:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga ojja kugaziwa ku ddyo ne ku kkono, era abazzukulu bo bagenda kwezza amawanga, basenge mu bibuga byabwe ebyali amatongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga olisaasaanira ku mukono gwo ogwa ddyo era n’ogwa kkono, n’ezzadde lyo lirirya amawanga, era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ensalo z'ensi yo zirigaziwa ku buli ludda. Ezzadde lyo liryongezebwa ensi ebaddemu ab'amawanga amalala, era lirijjuza abantu mu bibuga ebyali birekeddwawo ettayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olyanjaala ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono; n'ezzadde lyo lirirya amawanga, era lirituuza abantu mu bibuga ebyalekebwayo.