Isaiah 54:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Leka kutya, kubanga tojja kuswazibwa; teweeraliikirira, kubanga toliddamu kusonyiwazibwa, anti ensonyi z'omu buvubuka bwo ojja kuzeerabira, n'ebivumo eby'obwannamwandu toliddayo kubijjukira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo, n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi, so toswala, kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buvubuka bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Totya, kubanga toliddamu kuswazibwa, era tolitoowazibwa. Olyerabira ensonyi ez'obutaba mwesigwa mu buto bwo, n'ennaku y'okulekebwawo nga nnamwandu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Totya: kubanga tolikwatibwa nsonyi: so toswala; kubanga ensonyi tezirikukwata: kubanga olyerabira ensonyi ez'omu buto bwo, n'ekivume ky'obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.