Isaiah 54:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Eyakutonda ye balo; erinnya lye, Mukama w'Amagye. Omutuukirivu wa Yisirayeli ye Mununuzi wo; aliyitibwa Katonda w'ensi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda ow’ensi yonna, bw’ayitibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye; era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; ayitibwa Katonda w'ensi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Omutonzi wo, oyo Mukama Nnannyinimagye, ye balo. Era Omutuukirivu wa Yisirayeli, ayitibwa Katonda w'ensi yonna, ye Mulokozi wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Omutonzi wo ye balo; Mukama ow'eggye lye linnya lye: era Omutukuvu wa Isiraeri ye mununuzi wo; aliyitibwa Katonda wa nsi zonna.