Isaiah 54:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akuyiseeyo ng'omukazi eyali ayabuliddwa, anyoleddwa mu mutima; Omukama n'akuyita; Katonda wo akuyita ng'omukazi eyafumbirwa mu buvubuka n'akyayibwa,” Katonda wo bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,” bw’ayogera Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwawo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, ng'omukazi owo mu buvubuka bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli ng'omukazi eyawasibwa mu buvubuka, eyalekebwawo bba, oba eyagobebwa, n'awulira obuyinike. Naye kaakano Mukama akuyita odde gy'ali, era agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama akuyise ng'omukazi eyalekebwayo n'omwoyo gwe nga guliko obuyinike, omukazi ow'omu buvubuka, bw'agobebwa, bw'ayogera Katonda wo.