Isaiah 54:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'obusungu okusituka, namala akaseera nga nkukwese amaaso gange, naye olw'okwagala okw'emirembe gyonna, nzija kukukwatirwa ekisa,” Omukama, Omununuzi wo bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata nakweka amaaso gange okumala ekiseera, naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,” bw’ayogera Mukama Katonda, Omununuzi wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu obwanjaala bwe bwankwata, nnakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga ndi mu busungu obungi, nakukuba amabega okumala akaseera; naye kaakano nja kukusaasira n'okusaasira okutaliggwaawo.” Mukama Omununuzi wo, bw'atyo bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu obwanjaala nga bunkutte naakukisa amaaso gange akaseera; naye ndikusaasira n'ekisa ekitaliggwaawo, bw'ayogera Mukama omununuzi wo.