Isaiah 54:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino nkiraba nga mu budde bwa Nowa, bwe nalayira nti amazzi g'omu budde bwa Nowa tegakyaddayo kubuutikira nsi. Bwe ntyo bwe ndayidde na kati obutaddayo kukusunguwalira, n'obutaddayo kukuboggolera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kubanga gye ndi, bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa. Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekyo kiri ng'amazzi ga Nuuwa gye ndi; kuba nga bwe nnalayira ng'amazzi ga Nuuwa tegakyayanjaala ku nsi bwe ntyo bwe ndayidde nga sirikusunguwalira so sirikunenya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nga bwe nalayira mu biseera bya Noowa nti siriddamu kuleeta mujjuzo gwa mazzi ku nsi, ne leero bwe ntyo bwe ndayira nti sirikusunguwalira, sirikunenya, wadde okukubonereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekyo kiri ng'amazzi ga Nuuwagye ndi: kuba nga bwe nnalayira ng'amazzi ga Nuuwa tegakyayanjaala ku nsi bwe ntyo bwe nnalayira nga sirikusunguwalira so sirikunenya.