Isaiah 55:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayonta mwenna, mujje; mujje ku mazzi; nammwe abatalina ssente, mujje mugule, mulye! Mujje mugule evviini n'amata awatali ssente, awatali kusasula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kale ajje, buli muntu alumiddwa ennyonta, ajje eri amazzi, n'oyo atalina zigula, ajje, agule alye! weewaawo, mujje, mugule omwenge n'amata ebitali bya kugula ebitaliiko muwendo gwa kusasula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Buli muntu alumwa ennyonta ajje awali amazzi anywe, nammwe abatalina nsimbi mujje mugule emmere mulye. Mujje mugule omwenge n'amata nga temuliiko kye musasula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n'oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje mugule omwenge n'amata awatali bigula awatali muwendo.