Isaiah 55:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ng'enkuba n'omuzira bwe biva ku ggulu ne bikka, ne bitaddayo nga tebinnyikizza ttaka, ne birireetera okubaza n'okumeza, ne liwa omusizi ensigo, n'emmere oyo alya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ng’enkuba bwetonnya n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu n’ebitaddayo, wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, ne bimerusa ensigo z’omusizi, era ne biwa omuli emmere,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli eby'okulya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ng'enkuba n'omuzira bwe bigwa okuva mu bbanga ne bitaddayo waggulu naye ne bifukirira ettaka, ne bimeza mu lya ebimera, ne bibala ebibala, ne biwa omulimi ensigo ey'okusiga n'emmere ey'okulya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli ebyokulya;