Isaiah 55:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ekigambo ekiva mu kamwa kange bwe kiriba: tekiridda gye ndi nga kikalu, wabula kirituukiriza kyonna kye ŋŋenderera, kiriraka mu nsonga ekinsindisizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bwe kityo n'ekigambo kye njogera, bwe kinaabanga. Tekiddenga gye ndi nga kyereere, wabula kinaakolanga ebyo bye njagala, ne kituukiriza bye nkitumye okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe kityo me kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omuisa mu ekyo kye nnakitumirira.