Isaiah 55:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kifo ky'ebisaka by'amaggwa sipulaasi y'alisituka; mu kifo ky'omwennyango, jjambula y'alikulawo; ekyo kiriweesa Omukama erinnya, ke kaliba akabonero ak'olubeerera akatalikutulwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kifo ky’omweramannyo mulimeramu olusambya, ne mu kifo ky’omutovu mulimeramu omumwanyi. Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo ak’emirembe n’emirembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kifo ky'omweramannyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky'omutovu mulimera omumwanyi; ekyo kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisambya girimera awabadde emyeramannyo, n'emimwanyi giridda mu kifo ky'amatovu. Ekyo kiriba akabonero ak'olubeerera akalaga nti ekyo, Nze Mukama, Nze nkikoze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kifo ky'omweramanyo mulimera olusambya, ne mu ifo ky'omutovu mulimera omumwanyi: era kiriba eri Mukama erinnya, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.