Isaiah 55:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki ssente zammwe muzimalira mu bintu ebitali mmere, n'okutegana kwammwe ku bintu ebitakkusa? Mumpulirize bulungi, mulye ekirungi, n'omwoyo gwammwe gusanyukire ku masavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya muteganira ebyo ebitakkusa? Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi, emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki musaasanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya, lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirize n'obwegendereza, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki okufulumya ssente ku ebyo ebitali mmere, n'okuteganira ebyo ebitayinza kubakkusa? Muwulirize bulungi bye ŋŋamba mulyenga ebirungi, musanyuke.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwaki okuwaayo ebigula olw'ebyo ebitali bya kulya? lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu.