Isaiah 55:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga namufuula omujulirwa eri abantu, omukulembeze era omuluŋŋamya w'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba namufuula omujulirwa eri abantu, omukulembeze era omugabe w’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nayita mu ye okulaga ab'amawanga obuyinza bwange, nga mmufudde omukulembeze era omufuzi w'amawanga ow'oku ntikko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.