Isaiah 55:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi ave mu kkubo lye ebbi, n'omuntu omubi ave mu ndowooza ye. Adde eri Omukama, ajja kumusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiwa mu bungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omubi aleke ekkubo lye, n’atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omubi alekeyo empisa ze embi, n'omwonoonyi akyuse endowooza ye adde eri Mukama, Mukama anaamukwatirwa ekisa; adde eri Katonda waffe, kubanga wa kisa, era asonyiyira ddala nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo.