Isaiah 55:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Anti eggulu nga bwe litumbidde ku nsi, n'amakubo gange bwe gasukkulumye ku gammwe, n'ebirowoozo byange ku birowoozo byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eggulu nga bwe liri waggulu ewala ennyo n'ensi, n'engeri zange bwe ziri bwe zityo ewala ennyo n'engeri zammwe; era n'ebirowoozo byange bwe biri bwe bityo ewala ennyo n'ebirowoozo byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n'ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.