Isaiah 56:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Mukuume obutuufu, mukole ebikolwa eby'obutuukirivu, kubanga okulokola kwange kuli kumpi n'obutuufu bwange buli kumpi okwolekebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Mukole eby'amazima era mukolenga eby'obutuukirivu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu, kubanga nnaatera okubanunula, ndage nga bwe ndi omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mukwatenga eby'ensonga, mukolenga eby'obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa.