Isaiah 56:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mbwa ez'amaddu amangi ezitakkuta, basumba tebategeera kimala; bonna beekwatidde makubo gaabwe, buli muntu okutuusa ku asembayo beenoonyeza bya kufuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bali ng'embwa ez'omululu, ezitakkuta ennaku zonna. Bonna beemalidde ku byabwe: buli omu ku bo yeenoonyeza bya kwefuniramu magoba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.