Isaiah 56:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu akola kino yeesiimye, n'omwana w'omuntu akikwata, akuuma Sabbaato n'atagyonoona, atangira omukono gwe okukola ekibi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweererako. Akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiwa omukisa abakuuma Sabbaato bulijjo, ne batagikolerako mirimu. Ndiwa omukisa abo abeekuuma ne batakola bibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.