Isaiah 56:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugwira anyweredde ku Mukama aleme kugamba nti: “Omukama ddala agenda kunjawula ku bantu be,” n'omulaawo aleme kugamba nti: “Nzuuno ndi muti mukalu!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “ Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so n’omulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti, “Mukama talirema kunjawula n'abantu be,” so n'omulaawe tayogeranga nti, “Laba, ndi muti mukalu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugwira eyasenga mu bantu ba Mukama, tagambanga nti: “Ddala Mukama ansosola mu bantu be.” N'omulaawe tagambanga nti: “Nze ndi ng'omuti omukalu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n'abantu be: so n'omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu.