Isaiah 56:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu nnyumba yange ne mu bigo byange ndibawaamu ekijjukizo n'erinnya erisinga batabani bange ne bawala bange; ndibawa erinnya ery'olubeerera eritagenda kukutulwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Ndibawa erinnya eritaliggwaawo ery’emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nti: Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba yange mu bisenge byamu, ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abo ndiwa amannya gaabwe okujjukirwanga mu Ssinzizo lyange ne mu bantu bange, ebbanga eggwanvu okusinga lwe bandibadde bazadde abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Tebalyerabirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nti Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba ne munda w'ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.