Isaiah 56:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abagwira abanyweredde ku Mukama okumuweereza, okwagala erinnya ly'Omukama, okubeera abaweereza be, bonna abakwata Sabbaato ne batagyonoona, ne banywerera ddala ku ndagaano yange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama, okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukama era n’okubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne bannamawanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagwira abo abaasenga mu bantu ba Mukama, abamwagala, abamuweereza, abakuuma Sabbaato ze, era abassaayo omwoyo okukuuma endagaano ye, Mukama abagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;