Isaiah 56:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ndibatwala ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusiza mu nnyumba yange ey'okwegayiririramu; ebitambiro byabwe ebyokye n'ebyonziira byabwe birikkirizibwa ku mwaliiro gwange; kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu eri amawanga gonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ndibatuusa ku Lusozi lwange olutukuvu, ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey'okusinzizaamu. Ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitambiro bye baleese, ndibikkiriza ku alutaari yange, kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga ennyumba ab'amawanga gonna mwe bajja okunsinziza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.