Isaiah 56:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda, akuŋŋaanya abawaŋŋangusibwa ba Yisirayeli, gamba nti: “Ndibakuŋŋaanyizaako n'abalala, abatali abo abaakuŋŋaanyizibwa edda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala ng’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti, Oliba olyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Afugabyonna, era akuŋŋaanya abantu ba Yisirayeli abaawaŋŋangusibwa, agamba nti: “Ndimukuŋŋaanyizaayo n'abalala, ne beeyongera ku babe abaakuŋŋaanyizibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.